Meeting - 27 01 2018
Meeting - 27 01 2018
Meeting - 27 01 2018
Olukiiko lw’ekika
Enakuz’omwezi : 27/01/2018
Abaliwo:-
Ekitibwa kya Buganda: twawebwa wkitibwa kya Buganda okuva ewa sebulime
Okwanirizibwa (Jjaja Kyeyune): Jjaja kyeyune yayaniriza bonna abaliwo nalaga wa gyetuva, era natugirayo
ekiwandiiko ekya wandikibwa D. L. K. Seruwu eky’olukiiko olwatuula e kalagi nga 12/11/1973 nasaba
kisomwe kuba gyetwava.
Okusoma ebyaliwo mulukiiko olw’asooka e kalagi 18/11/2017. Era byasomwa ssenyonjo abel owe kalagi.
Omukubiriza w’olukiiko yategeeza olukiiko nti yafunye e baluwa okuva e kalagi ng’ekwata kunsonga ya
kizza Temiteewo.
Twalagibwa constitution ye nnyonyi e Nnyange era copi zatundibwa buli omu okwefunila eyiye okusobola
okutegeera enzirukanya y’ekika.
Olukiiko lwasalawo jjaja Kyeyune atutegeeze obuvo bwaffe n’obuddo naye yayimuka natutegeeza nti
byeyasobola okufunako by’ebyolukiiko lwe 12/11/1973 olwali e kalagi nasaba ekiwandiko ekyo kisomwe
era Zziwa Samson owe kikonge aveeyo agye asomere olukiiko ekiwandiko ekyo.
Yakisoma era nga kiraga gyetwava, essiga, olunyiriri, omutuba wamu ne bajjajaffe abedda abenjawulo
naye nga tusibuka Bbanga mu Ssese mu ssiga Nvubwa omwana we kiwukyeru Mbaziira mumutuba gwe
Nakkande e ntende bulamu busiro mu lunyiriri lwa nalwoga e nsonzi ssese
Omwami kyambadde owa taata nyombi yatutegeeza nti yagendako mulukiiko lw’ekika e Bulimu Kyaggwe
ne bamutegeeza nti essiga lyaffe telikiika munkiiko zakika era a benyonyi Nakinsige balikayanira
natugamba nti omutaka kibuye yavunanyizibwa ku byobuwangwa mukika nasaba tumulabe
atulambululire ebyaffe.
Jjaja Kyeyune yasaba tulonde abananonya omukulu w’ekika, katikiro, wamu n’owebyobuwangwa Kibuye
tumanye ebitukwatako n’okutambuza essiga lyaffe
1. Jjaja Kyeyune
2. Ssenyonjo Abel
3. Kazibwe Emmanuel
4. Kyambadde Mbidde
5. Namuyanja Agnes
6. Namugaba Rose
7. Zziwa Samson
Okumanyagana okudako:
omukubiriza w’olukiiko yasaba balonde ekiffo era n’olunaku okumanyagana okudako wekulibera
Omwami Zziwa Ronald muzukulu wa Jjaja Lwanga yawaba omusango gwettaka ly’omugenzi Lwanga
litundiddwa Ssengawe era yasaba ayambibweko. Litundibwa twekembe Estate 0782 173587 ettaka
elyogerwako lyelye kiwumu Buloba eririko ekijja wamu n’elye Namasuba abakulu balyegabanya
Omwami kyeyune Robert yateesa nti balonde abakulu balondole eby’ettaka ly’omugenzi lwanga
Omwami kyambadde yateesa nti olukiko lw’ekika luwandikire abakwatibwako okutunda ettaka lya
Lwanga
Mwami Mpungu Ronald naye yateesa nti abavunanyizibwako kuttaka elyo bawandikibwe ebbaluwa
bagye mulukiiko lw’ekika
Taata kalemba yaleta ensonga nti olukiiko olwo okutuula tusoke tumareokunonyereza kunsonga z’essiga
lyaffe wekutuuse
Mwami Setabi (owa mzee Sseruwu) yagamba nti akiriziganya n’abekikonge okutegeka
Akakiiko kateseza nga ennaku z’omwezi 9/12/2018 olukiiko lw’okumanyagana lwelunatuula mumaka
g’omwami Mpungu Ronald e kikonge 0782495116
Mulukiko olwo tulimanyagana era n’okumanya lwetunadamu okutuula netudalawo buli nyumba, enzigya
bagye ne lisiti yamannya g’abaana bebazaala tubayingize ne mukitabo kyekika abatayingirangamu
Akakiko era kasawo buli muntu yenna kwolwo alina okugya n’abaana be bonna n’abazukulu
Olukiiko lwatesa okugoba mwami Kizza Temiteewo kikibanja kye kijja e kalagi mwami Mpungu yateesa
nagamba nti bamuwandikire ebbaluwa mubutongole kuba luli twamugamba bugambi mulukiiko
olwagwa
Omwami Kyambadde yateesa nti bamuwandikire ebbaluwa yekenyini atwenyonyolere oba yava mukika
oba akyalimu tuve kungambo
Akakiiko kasazewo ssenga alange omusika era bajjaja bamukirize ssenga yalanga omusika w’omugenzi
Namirimu Margret. Omusika ye Nanyonga Margret era bajjaja bamukiriza nebamulangirira mu kakiiko
okuba omusikawe agende akole emikolo naye agya kutuuzibwa mubutongole lwetunayabya olumbe
lwamuzeeyi Sseruwu e Nakulabye.
Ebitukidwako mulukiiko
Abekika okuyingira munsonga zettaka ly’omugenzi lwanga era luwandiikidde ssenga w’abaana Nakiwu
Margret Namusisi yeyanjule nga 1172/2018 mu kinaawa.
Okuyimiriza Temiteewo kubyettaka era awandikidwa naye ebbaluwa mubutongole
Akakiiko kasazeewo enyimbe zabizibwe mubwangu naddala olw’amuzeeyi Sseruwu okusobola okuwa
abalala okola emikolo gyabwe
Okusaawo ensawo y’ekika era akakiiko nekasalawo bulimuntu abengako nekyajjanakyo mukumanyagana
kyanassa munsawo y’ekika nga obusobozibwe bwebuli
Akakiiko kasazeewo ffena twenyigire mulunnaku lw’okumanyagana nga 9/12/2018 tuleme kululekela
banyumba emu.
Budget yakorebwa
ZIGABANYIZIDWAMU BWEZITI
Kikonge 1,000,000
Kinaawa 1,000,000
Musaba 500,000
Kalagi 2,000,000
………………………………………………….….
Senyonjo Abel
Omukubiliza
…………………………………………………..…
Mpungu Ronald
Bikakasidwa
……………………………………………………….
Omukulu w’olugya