mass program

Download as docx, pdf, or txt
Download as docx, pdf, or txt
You are on page 1of 9

EASTER MONDAY AND REQUIM MASS PROGRAM FOR THE

LATE MR. KYEYUNE ALLOYSIOUS KITIKYAMUWOGO AT


KYENGEZA PARISH.

PRELUDE 1. EMYOYO GY’ABATWALIBWA


ENTRANCE KRISTU AVUDDEYO AMYANSAMYANSA
MERCY AYI MUKAMA SAASIRA – MUKISA
GLORY ET IN TERRA PAX
MEDITATION BA MUKISA ABAFIIRA MU MUKAMA
GOSPEL ALLELUIA, ALLELUIA , ALLELUIA
PETITIONS GGWE OLI WA KISA
OFFERTORY ABAKRISTU DDUNDA TUMUWE
DDUNDA TUSAASIRE
HOLY HA! HA! HA! MUKAMA
LAMB AKALIGA KA KATONDA
H/COMM KA TUSANYUKE FENNA ABABATIZE
YEZU LEERO ASINZE
THANKSGIVING MIREMBE OMUKAMA
REQUIM PRAYERS TULIZUUKIRA
FUBA FUBA EGGULU Y’EMPEERA.
EMYOYO GY’ABATWALIBWA

1. Emyoyo gy’abatwalibwa,
Mu Purgatori,
Ginyolwa nga gisasula,
Ebbanja ery’ebibi.

2. Kimu kyokka gisuubira,


Okulaba Yezu,
N’okwesiima n’okubbira
Mu ssanyu erijjuvu

3. Ensinda gye gisindamu,


Ku nsi tesangika
N’enkaaba gye gikaabamu,
Nayo tegambika.

4. Essaala yo gy’onaasoma,
Y’eneejanguyiza,
Essanyu eritakoma,
Lye tugisaanyiza.

5. Katonda Yamba abaana bo,


Ababonaabona,
Era tuma ababaka bo,
Babawonye bonna.
KRISTU AVUDDEYO AMYANSAMYANSA

1. Eyeefuula omuntu nakka, n’abeera e waffe ku nsi,


Nattibwa ku lwaffe abantu, leero azuukidde!

Chorus: Luwangula Kristu, omuzira, amegguzze ssitaani olwa leero, leero


tununuddwa
Kristu avuddeyo amyansamyansa, ng’Ayakayaka, Yezu atangalijja;
Kristu avuddeyo, amyansamyansa, Alleluia!

2. Olwa leero twenyumiriza, anti walumbe asingiddwa


Olwa leero tumukulisa nnyo, Kristu awangudde.

3. Eggulu n’ensi bisagambiza lwa Yezu Kristu oyo omununuzi,


Eyafa luli ku musaalaba wuuno azuukidde.

4. Madalena akedde n’abalala ku ntaana bazze okuziraga,


Babuliddwa anaggyawo ejjinga sso Yezu yagenze dda!

5. Bakazi mmwe munoonya ani? Tunoonya Yezu eyaziikiddwa,


Tali muno anti takyali mufu, yezu azuukidde.

6. Mugende mugambe abatume be, nti e Galilaaya gye baba balaga


Bamusangeyo gye yabeesoose, anti bwe yayogera.

7. Emirembe ku mmwe gibeere, nze nzuuno , mwene temuntya


Ka mbalage ebibatu n’ebigere, anti nzuukidde.

8. Olw’okuba yye okuzuukira, nga n’obwaffe bukomye ku nsi,


Tuli bagumu tulizuukira, ALLELUIA.
ET IN TERRA PAX HORMINIBUS
GLORIA IN EXCELSIS DEO
REFR: Et in terra pax ominibus alleluia
Bonae volutantis
1. Tukutenda, tukugulumiza , tukusinza emirembe gyonna.

2. Ayi Mukama ggwe Katonda omuyinza wa buli kantu.

3. Ayi Mukama ggwe Katonda Omwana ggwe azaalibwa omu yekka.

4. Ayi Mukama Ggwe Katonda omwana wa Katonda Patri .

5. Ggwe aggyawo ebibi by’ensi tukusaba otusaasire ffe.

6. Ggwe atudde ku ddyo gwa Katonda tukusaba otusaasire ffe.

7. Mutuukirivu Ggwe Mukama, asukkiridde, Yezu Kristu.

8. Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu, mu kitiibwa ekya Katonda Patri

MEDITATIION – BA MUKISA ABAFIIRA MU MUKAMA

Ekidd: Ban mukisa abafiira mu Mukama


Ba mukisa abfiira mu Mukama
Besiimye, besiimye, besiimye abo:
Nga beesiimye, nga beesiimye nga beesiimye, abafiira mu Mukama.
1. Baali beesigwa ku nsi ne bamuweereza oyo Katonda
Kati bali wamu n’Omukama, mu kiwummulo eky’olubeerera.

2. Mwoyo agamba: okuva kati okukola kuwedde,


Mwoyo agamba: Okutegana kuwedde
Ebirungi bibagoberera, bye baakola bye bagenze nabyo.

3. Bawummudde, bawummudde, bawummudde mu Mukama;


Bawummudde mu ddembe.
ABAKRISTU DDUNDA TUMUWE

CHORUS: Abakristu ddunda tumuwe byonna ebyaffe n’essanyu,


tumuddize ebyaffe Lugaba wamu ne Kristu ali naffe.

1. Ebirabo biri eby‟edda, byo tibyasiimibwa.


Kino ekiggya ekya Yezu, kinaakusanyusa.
2. Ebirabo byaffe ebingi, si birungi nabyo.
Ggwe bisiime, kuba Yezu gw‟osiima abyanjudde.
3. Eno evviini ku Altari, yiino evudde mu nsi.
Era siima omugaati ogwo, guvudde gwo mu nsi.
4. Ggwe, Kitaffe ow‟ettendo, yambanga abantu bo,
Okubeera olwa Kristu, gw‟oganza atwanjudde.

DDUNDA TUSAASIRE – EBIRABO

EKIDD: Ddunda tusaasire, ffe abajja gy’oli n’ebitone


Ddunda, bikkirize, ebiva mu ffe, Ggwe nno b’Olonze!

1. Tuzze gy’oli kitaffe Ggwe katonda, ye Ggwe atasingwan bukulu,


Siima Twala ebitone bye tuleeta, byonn siima ssebo bikuwe ekitiibwa
kyo.

2. Tuzze gy’oli alamula, buli kantu, byonna bisaanye bikutende.


Teri mu ebyo bitonde kikusinga, byonna ggwe abifuga, byonna
bikugondera.
3. Yiino evviini gye tuwa n’omugaati, by’ebyo by’osiima mu bantu bo,
Kristu, yye bye yeyamba n’atugamba, byonna nze mbatuma, mukole nga
kye nkoze.

4. Tuzze gy’oli kitaffe, ggwe atubumba, ffenna abaavu nno lunkupe,


Tuzze twesiga ssebo, okuyambwa, byonna siima ssebo, otuwe bye
twetaaga.

KA TUSANYUKE FFENNA ABABATIZE – OKUSEMBERA

Ekidd: Ka tusanyuke ffenna ababatize, Yezu b’Ayise, ffenna ffe ku mbaga


ye!
Tulifa lumu kyokka tuliva e magombe eri n’obuwanguzi,
Nnyini bulamu ffenna alituzuukiza!

1. Nze kuzuukira: anzikiriza ne bwa’lifa aliba mulamu: Yezu Y’akigamba!


2. Nze kuzuukira, angoberera, ndiba naye, nga mmuzuukiza, ndijja nze
mmutwale.
3. Yezu gw’ofunye kyakulya ddala, tomwewala, Y’alikulamya! Yezu bwe
yagamba
4. Yezu gw’funuye, kyakunywa ddala tuba naye, wa lubeerera, bwatyo
bwe yagamba!
5. Yezu gw’ofunye, ye Muganzi wo alizuukiza, abamumanyi! Bwatyo
bwe yagamba!
6. Yezu gw’ofunye, ggwe musuubize okuva kati, oli muddu we! Nnyweza
bye yagamba.
YEZU LEERO ASINZE

1. Yezu leero asinze! Ffenna tusanyuke n’emmeeme ekube ejjebe, Yezu


leero asinze!
Asinze sitaani n’olumbe, m nsi n’eggulu, mu nnaku enkulu,
lw’azuukiddemu, lwe lusinga mu ssanyu! Tumubbiremu, tuyimbe
wamu alleluia mu nsi n’eggulu.

2. Olumbe ssikyalutya, Yezu yalusinga, Yezu yaluwangula: olumbe


ssikyalutya!
Kwe nsinziira okukkiriza, kye yalanga edda, nti ndizuukira, akituusizza,
n’avaayo n’ekitiibwa: bwe tutyo ffenna, oluvannyuma, edda
tulimugoberera.

MIREMBE OMUKAMA – OKWEBAZA OKUSEMBERA

1. Mirembe Omukama, ayi Yezu Omwagalwa.


Ssiyinza kwogera , leero nkusinze ntya?
Mujje mmwe ba malayika, nammwe bannaggulu mmwena
Tusinzize wamu nnyini butukuvu.

2. Ayi Yezu nkwebaza, ku lw’okunkyalira!


Leero nkweyanze ntya, nga bwe kisaanira?
Essanyu limbugadde nnyo, nga nnekkaanya ebitone byo
Onnyambye weebale, wamma onsaasidde!

3. Nkusanyuse naki? Laba bwendi, bwendi!


Ebyange ze nsobi, nsale magezi ki?
Mmanyi nnefuula omuddu wo, ka nnywere mu busenze
bwo.
Bwentyo, nkwewongere, nga ggwe bw’onnewadde.
4. Nnyweza ne nneema Yo, nkwate ebiragiro,
Gumya Eklezia wo, akuume abaana bo.
Aboononyi bakomyewo, gy’oli mu tarbenakulo,
Tuwe emirembe gyo, mu Sakramentu lyo.

5. Ayi manu etukuvu, mugaati gwe ggulu,


Tuwe obunyiikivu, n’ensa mu mirimu;
Ggwe ntanda y’abatambula, ggwe ndasi z’abazirika,
Ggwe ddaala, ettukuvu , tulinnyise eggulu

TULIZUUKIRA – REQUIM PRAYERS

EKIDD : Tulizuukira, fenna tulizuukira


Tulizuukira ffe mu kitiibwa kya Yezu
Ku lw’oluvannyuma, ku olwo. X2

1. Nga kitaffe bwe yazuukiza, omuweereza we oyo Yezu,


Naffe twesiga era tukakasa,
Fenna abamumanyi, ng’alituzuukiza!
2. Ng’Omukama bwe yayogera, nga ye w’obuyinza obungi
Naffe naffe twesiga, era tukakasa,
Fenna abamumanyi, ng’alituzuukiza!

3. Yezu Mukama yayogera, nti: omuweereza we ng’afudde,


Tafa bumbula, kuba alizuukira,
Ng’ensi eno eweddewo, ku lw’oluvannyuma.

4. Yezu Mukama yayogera, nti: omugaati gw’awa gwa maanyi


Anti gw’ofuna ye Yezu Mukama,
Ajja okuzuukiza bonna abo b’amanyi.
FUBA FUBA EGGULU Y’EMPEERA! – REQUIM PRAYERS

Ekidd: Fuba fuba, eggulu y’empeera X 2

1. Eggulu y‘empeera kigambo kya kitiibwa, noonya mu ssanyu lyonna

lino lye lisinga!

2. Eggulu y’empeera, mu nnaku z’omukristu, toterebuka nywera

ng’osuubira eggulu!

3. Eggulu y’empeera, emikwano gyokunsi, gyonna giriba gyaki yezu

bw’omufiirwa?

4. Eggulu y’empeera, antwala ye Katonda, ky’andagira nkinyweza nga

ssemulugunya!

5. Eggulu y’empeera, ne bwe bananvumanga, mu mwoyo sinyiigenga

bo nga mbasonyiwa.

6. Eggulu y’empeera, ennaku, nga ziwedde, tulibeera mu ddembe,

emirembe gyonna.

You might also like